BANNAKIBIINA kya NRM abeegatira mu kisinde kya Kasangati NRM Mobilization Team bategese omwoleso okulaga nti bakozi tebatunuulidde byabufuzi byokka.
Omwoleso guno ogwayindidde mu kifo kya R&B e Luteete Kasangati nga gwetabiddwaamu abalunzi,abalimi abatunzi,abooki b'ebyuma n'abalusi b'ebintu eby'emikono ebyenjawulo.
Ssentebe w'ekisinde kino Eddylee Muyimbwa Bisawobyassente, agamba nti ekigendererwa kwe kulaba nga basigala beekumakuma nga bannakibiina balemenga kusisinkananga mu kiseera kya byabufuzi kyokka, wabula babeeko ettoffaali lye bagatta ku nsi yattu mu nkola y'okwekulaaakulanya.
Agattako nti wadde bawagizi ba Pulezidenti Museveni tebaleze ngalo kulinda kubawa wabula basaba kwongerwamu ku maanyi kuba bye bakola babirinamu obumanyirivu.
Ku lw'amaka g'omukulembeze w'eggwanga Arthur Niwagaba yasiimye bannakibiina bano be yagambye nti baanukudde okulabafuubana kwa Pulezidenti ne bassa mu nkolà ebyo by'alafuubanira okulaba nga buli omu aba bulungi naddala ng'alina ekivaamu ensimbi.
Yabasiimye olw'okwewaayo okulwanyisa obwavu mu maka, n'asaba bonna abatanneetanira nkola ya PDM okuvaayo bagiganyulwemu.
Ku ky'okubasindikamu, Museveni yabasuubizza okubateera ssente mu SACCO zaabwe era kino agenda kukizzaayo okulaba nga nabo bongerwamu kuba balina SACCO nga Kasangati.