Kikulu nnyo okumanya Katonda gy'akuggye - Paasita Joram Katenda 

Mu kwogerakwe ng'ekitabo kitongozebwa, yasabye Bannayuganda okusaba ennyo Katonda nga bakola ebyo by'ayagala kubanga abantu bangi bavvuunuka ebizibu wamu n’okufuna ebirungi naye ate abamu tebatendereza Katonda era wano yasabye Bannayuganda okusaba wamu n’okwebaza Katonda.

Jun 2, 2026 - 10:04
 0
Kikulu nnyo okumanya Katonda gy'akuggye - Paasita Joram Katenda 

Omusumba Dr.Joram Katenda atongozza ekitabo kye wawandiise kye yatuumye “ When you don’t know how, remember who.” Ekivvunulwa nti waliwo omuntu oyo eyakuyamba mu buzibu naye nga tomumanyi wabula ye nga akumanyi era, omuntu oyo ye Katonda.

Joram yategeezezza nti ekimu ku bintu ebyamusikirizza okuwandiika ekitabo kino y'embeera gye yayitamu mu kaseera ak’omuggalo gwa Covid19 eggwanga bwe lyali ku muggalo, agamba nti mu kitabo kino ayongera ku mbeera ye nga Katonda bw'amusitudde n'engeri gy'azze avvuunuka okusomozebwa okwenjawulo naye nga omuntu oyo azze amuyamba, ye Katonda.

Mu kwogerakwe ng'ekitabo kitongozebwa, yasabye Bannayuganda okusaba ennyo Katonda nga bakola ebyo by'ayagala kubanga abantu bangi bavvuunuka ebizibu wamu n’okufuna ebirungi naye ate abamu tebatendereza Katonda era wano yasabye Bannayuganda okusaba wamu n’okwebaza Katonda.

Margaret A. Ojara, ssentebe wa National Arts, Cultural and Crafts Association ye yabadde omugenyi omukulu. Ono yasabye abantu bulijjo naddala abo Katonda baasitudde eddaala okuwandiikanga ebitabo ebikwata ku bulamu bwabwe abantu basobole okuyigira ku gyenvudde waabwe kubanga abantu bangi bagumira nnyo ku gyenvudde w'abantu nabo be bamanyi n'ekibawa amaanyi agakola nga bwe basaba Katonda.

Omukolo gwabadde ku Skyzs Hotel e Naggulu, era ekitabo kino kijjudde emboozi nnyingi ennyuvu ate nga ziyigiriza, omukolo gwetabiddwako ne Irene Namutebi pulezidenti Rotary Club ya Mpererwe.