Obusiiwufu Bw’empisa Bwandivunza Obulabirizi
Bya Musasi Waffe mu Amerika
Nnazikuno ng’abaweereza b'e Kkanisa babayita ‘Kkola nga bwe nkola’, kuba bye bakola ne bye boogera tebyakontananga.
Ennaku zino bangi bayuuganyizibwa eby’enfuna, ensi ebabuunikidde, tebakyalimu nsa.
Wabula, mu ngeri y'emu, waaliwo ekiseera Omulabirizi w’e Namirembe we yakanguliranga ku ddoboozi, abalala bonna ne bavunnama, naye ennaku zino kyafuuka kirererere; ne bwe kivuga tewali afaayo.
Abagoberera eby’e Namirembe bakimanyi bulungi ng’Omulabirizi Banja bw'abadde ennyo mu mawulire emabegako ng’akangavvula abamu ku baweereza b'abadde ateebereza okuba abawaganyavu era abasiiwuuse empisa.
Gyo jjuuzi wano yakangavvula abayimbi ba Lutikko era n'abateeka ku butebe obutaddayo kuyimba okutuusa nga batadde emikono ku kiwandiiko ekikakasa nga bwe baali beeyamye okugondera amateeka g'ekkanisa.
Engeri Bisopu Banja gy'abadde yeeyisamu ng’oyinza okulowooza nti ye luula epimibwako obutereevu naye eby'enfuna Kkoyi – kuba tewali gwe bitafukamiza.
Mu ngeri endala, n’ebirwa byerabirwa naye nga abaliwo ku mulembe gwa Luwalira mujjukira bulungi bwe yakomba kw'erima ng’awakanya ekya bannaffe abava mu Ankole abaali baagala okubeerawo n'ekkanisa mu njegoyego za Kampala naye nga ya Bulabirizi bwa Ankole.
Bannaffe abo baali bagamba nti wadde baviira mu Nkole naye babeera mu Kampala nga n'olwekyo baagala bakung'anenga basinzenga mu lulimi lwabwe, era nga bakulemberwa Omwawule ava mu Bulabirizi bwabwe era nga Ekanisa eyo etwalibwa Obulabirizi gye bava awamu nga n’ebirabo ebikung'anyizibwa biweerezebwa mu Ankole gye bava butereevu. Luwalira yakomba kw'erima era n'awera nga bwe yali ajja okufa n’omuntu.
Embeera yasajjuka era ensonga zaggweera mu nkiiko ennene ez’ekkanisa bonna gye beeyamira obutasekeetereragananga.
Omuntu yennyini eyakalambira okulaba ng'obusekeeterezi tebwegiriisiza mu Bulabirizi bwe ate y'omu yalonda omu ku baawule be, eyali nfanfe n'amutuma agende akung'aanye Abaganda abali e Boston mu Amerika bw'atyo abakolemu Ekkanisa naye nga ya Bulabirizi bwe Namirembe. Rev. Kiwummulo omulimu yagutandikirawo amangu ddala nga yaakatuuka mu Amerika era Ekkanisa n'etandika okutinta.
Wadde nga mu Boston mulimu amakanisa ag’Enzikiriza ez'enjawulo, wewaawo era mulimu n'agagwa mu Anglican Church era nga gali wansi w’Omulabirizi w’Obulabirizi bwa New England era nga bakolagana bulungi ddala n'ekkanisa ya Uganda kuba buli Kazimba lw'akyala mu Amerika yonna atuukayo kyere – okuggyako ewa Kiwummulo!
Omulabirizi Andrew Williams owa New England ensonga yazituusa ewa Kazimba era baludde nga bazuzumba ne Kiwummulo naye tewali kyakyuka anti ng'abategeeza nga ebyabwe bwe bitamukwatako. Kumpi Abalabirizi b'omu Buganda bonna bakyaddeko ewa Kiwummulo ne babatiza era ne bassibwako emikono era balaalikibwa okuba abawulize eri Omulabirizi w’e Namirembe – ekintu ekimenya amateeka g’ebikanoni bya Anglican Church.
Bp. Luwalira bwe yawummula Ekkanisa ya Kiwummulo yagikwasa Banja eyamuddira mu bigere era w'osomera bino nga ba Bbanja bali Boston beekwese wa Kiwummulo era nga bagaanye okweyanjula ew’Omulabirizi Williams.
Ku Ssande eno nga June 29, ba Bbanja basuubirwa okukulembera ebikujjuko by’Abajulizi ba Uganda ebitegekeddwa okubeera mu kkanisa ya Kiwummulo era ng’emikolo gijja kubeeramu okubatiza n'okussaako emikono.
Wadde nga kati bawezezza wiiki nnamba bukya batuuka mu Amerika, we twagendedde mu kyapa ng'Omulabirizi Bbanja tanneeyanjula wa munne Williams.
Kino kyongera okukakasa nga Bp Bbanja bw'ategeka okumenya amateeka g’Ekkanisa agatakkiriza Mulabirizi kukola mikolo gyonna mu Bulabirizi bwa munne nga teyeeyanjudde n'okuweebwa olukusa.
Abali okumpi ne Ssaabalabirizi Kazimba bagamba nti mwennyamivu nnyo olw'ejoogo erifung’amye mu Namirembe erireetedde ba Bbanja obutamuwuliriza - kuba yali abagaanye okugenda e Boston kyokka baakomba kw'erima era ne bamulimba nti baali bagenda kuwummulako sso ssi kukola mirimu gya Kkanisa. Kigambibwa Omulabirizi yatwalidde Kiwummulo layisensi emukkiriza okuweereza mu Bulabirizi bw'e Namirembe mu kitundu ky'omu Amerika.
Bwe twayogeddeko n’abakiika mu nkiiko z’Obulabirizi e Namirembe, bonna bassizza kimu nga nkuyege nti tewabangawo kiteeso kyonna ekyali kireeteddwa e Namirembe okuteesa ku nsonga ez'okuggulawo Obusumba mu Amerika – ng'enkola y'Ekkanisa bw'erambika.
Bakakasizza nti 'Akasumba' k'e Boston kantu ka Mulabirizi bo ng’Obulabirizi tebakamanyi mu butongole wadde ng’ebigenda mu maaso babiwulira. Bagasseeko nti wadde eng'endo ez'engeri eyo ziba za kyama naye era Omulabirizi bw'aba agenda ensimbi ezimutambuza aziggya mu ggwanika lya Bulabirizi kyokka nga bw'akomawo, tayanjula byabaddeyo - biba byankukutu.
Singa Muzeeyi Zzedde teyafa, wano yandibadde akikinala n'abuuza nti “Zziizi yatambula ddi n'atuuka ne mu Makanisa ga Church of Uganda agareetedde abateeka amateeka aganyiga baweereza bannaabwe ate bo okweteerawo agaabwe agabaleetera okuvvoola enkola y’Ekkanisa y'emu ate mu lujjudde?”