Kkooti e Kasangati etandise okuwulira emisango gy’oby’okulonda

Madinah okugenda mu kkooti kyaddirira akalulu ka gavumenti z’ebitundu akaakubwa gye buvuddeko, Nakamate k'alumiriza nti yakawangula n'obululu 379 ate Nantongo n'afunna obululu 261.

Jun 3, 2026 - 13:26
 0
Kkooti e Kasangati etandise okuwulira emisango gy’oby’okulonda
Nakamatte

Kkooti ento e Kasangati ekulirwa omulamuzi Beatrice Khainza etandise okuwulira omusango gw’ebyokulonda ogwatwalibwayo Madinah Nakamate (NUP) nga awawaabira Sumayah Nantongo (Talina Kibiina) ng'amulanga okubba obuwaguzi bwe ku kifo kya kkansala omukyala w'omuluka gw'e Nangabo ku Kasangati Town Council,  Wakiso.

Madinah okugenda mu kkooti kyaddirira akalulu ka gavumenti z’ebitundu akaakubwa gye buvuddeko, Nakamate k'alumiriza nti yakawangula n'obululu 379 ate Nantongo n'afunna obululu 261.

Nakamate agamba nti kyamubuukako ate ekitabo kya gavumenti ekitongole ekiyitibwa 'Gazete' bwe kyafuluma nga Nantongo ye muwanguzi n’obululu 458 ate nga Nakamate alina 400.

Kino kyatabula Nakamate n'addukira mu kkooti e Kasangati n'ayimiriza okulayira kwa Nantongo era Nantongo teyalayidde nga kansala w’omuluka gw'e Nangabo ku Kasangati Town Council nga May/29/2026.

Sumayah Nantongo mu kkooti abadde akiikiriddwa munnamateeka we Mpiima Jamiru  Ssennoga ate Nakamate abadde akiikiriddwa munnamateeka we Asuman Basalirwa.

Looya wa Nantongo yategeezezza kkooti nti tasobola kugenda mu maaso na musango nga akakiiko k'eby’okulonda tekaliiwo tekategezebwa era wano omulamuzi omusango agwogeddeyo. 

Omulamuzi alagidde Town Council y'e Kasangati eweeyo okwewozaako kwayo ku enkya ku Lwokuna luno nga June 4/2026, Munnamateeka wa Nakamate aweeyo okwewozakwo kwe nga June 5/2026 ne Nantongo aweeyo okwewozaako nga June/12/2026.

Omulamuzi wa kkooti agambye nti tewagenda kubeerawo kwewozaako mu lukale (Public Court) omulamuzi agambye nti amaze okusoma byonna agenda kuwa ensala ye nga June 23/2026 ku ssaawa 6 ogw'emisana.